Job 5

1 a“Koowoola kaakano, waliwo anaakuyitaba?
Era ani ku batukuvu gw’onoolaajaanira?
2 bObukyayi butta atalina magezi,
n’obuggya butta omusirusiru.
3 cNdabye abasirusiru nga banywevu,
naye mangu ddala ne nkolimira ekifo kye batuulamu.
4 dAbaana baabwe tebalina bukuumi,
babetenterwa mu luggya nga tewali abawolereza.
5 eOmuyala alya amakungula gaabwe
era atwala n’ag’omu maggwa
era awankirawankira eby’obugagga byabwe.
6Kubanga okulaba ennaku tekuva mu nsi,
wadde obuzibu okuva mu ttaka,
7 fwabula abantu bazaalibwa kulaba nnaku,
ng’ensasi bwe zibuuka waggulu.
8 gNaye nze, nzija kunoonya Katonda
era mmulekere ensonga zange.
9 hAkola ebikulu, ebitanoonyezeka,
ebyewuunyisa ebitabalika.
10 iAtonnyesa enkuba ku nsi,
n’aweereza amazzi mu byalo.
11 jAyimusa abo abanyigirizibwa
n’abo abakaaba ne basitulibwa mu mirembe.
12 kAziyiza enkwe z’ababi,
emikono gyabwe gireme okutuukiriza bye bateesa.
13 lAgwikiririza abagezigezi mu bukujjukujju bwabwe,
n’enkwe zaabwe n’aziziyiriza ddala.
14 mEkizikiza kibabuutikira emisana,
ne bawammanta mu ttuntu ng’ekiro.
15 nNaye aggya abali mu bwetaavu mu mukono gw’abo ab’amaanyi,
n’abawonya ekitala kyabwe.
16 oAbaavu ne balyoka baba n’essuubi,
n’akamwa k’abatali benkanya ne kazibibwa.

17 p“Alina omukisa omuntu Katonda gw’abuulirira;
noolwekyo tonyooma kukangavvula kw’oyo Ayinzabyonna.
18 qKubanga ye y’afumita ate era y’anyiga,
y’alumya era y’awonya.
19 rAlikuwonya mu buzibu bwa ngeri mukaaga.
Weewaawo ne mu ngeri musanvu tootuukibwengako kulumizibwa.
20 sMu njala alikuwonya okufa,
era anaakuwonyanga mu lutalo olw’ekitala.
21 tOnookuumibwanga eri olulimi olukambwe,
era tootyenga okuzikirira bwe kunaabanga kujja gy’oli.
22 uOliseka ng’okuzikirira n’enjala bizze,
era tootyenga nsolo nkambwe ez’oku nsi.
23 vOnoobanga n’enkolagana n’amayinja ag’omu nnimiro,
era onoobanga n’emirembe awali ensolo enkambwe.
24 wOlimanya nti, ensiisira yo eri mirembe;
era eby’obugagga byo olibibala n’olaba nga tewali kibuzeeko.
25 xOlimanya ng’ezzadde lyo liriba ddene,
ne bazzukulu bo baliba bangi ng’omuddo ogw’oku nsi.
26 yOlituusibwa ku ntaana yo nga wakaddiyira ddala,
ng’eŋŋaano bwe tuukira mu kiseera kyayo.

27“Ekyo twakyekenneenya, kituufu.
Kimanye nga kikwata ku ggwe.”
Copyright information for LugEEEE